Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna
1

Abajeemu mu bantu abaweebwa e kitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde.

2

Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (Kur'ani).

3

Ekirimu amateeka amalambulukufu.

4

Era abantu abo abaweebwa e kitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunnyonnyofu bumaze okubajjira.

5

So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu.

6

Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa e kitabo n’abo abagatta ku Katonda e bintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna.

7

Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi be balungi okusinga ebitonde byonna.

8

E mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe kubayingiza jjana eyitibwa Aden, nga emigga gikulukutira mu yo. Baakugibeeramu olubeerera. Katonda yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda).