1
Mazima ffe twassa Kur'ani mu kiro ekiyitibwa Layila-tul-kadri (e kiro ekyokugera era ekyekitiibwa).
2
Ye nno omanyi Layila-tul-kadri kye ki?
3
Layila-tul-kadri kiro kirungi okusinga emyezi olukumi (1000).
4
Mu kiro ekyo, ba Mlayika bakka nga ne Jiburilu mwali ku lw’ekiragiro kya mukama waabwe (Katonda). Nga bajja na buli kiragiro.
5
Ekiro ekyo kya mirembe myereere, okutuusa obudde okukya.