Gamba nti, nsaba obukuumi okuva eri Mukama omulabirizi wa bantu.
Omufuzi w'abantu
Asinzibwa abantu.
Amponye obubi bw’omulabankanya sitaani omwekwesi
Oyo alabankanya (e mitima egiri) mu bifuba by'abantu.
(Sitaani) ow’omu majiinni ne sitaani ow’omu bantu.