113 - The Daybreak - Al-Falaq
:1
Gamba nti, nsaba obukuumi ewa Katonda afuga okukya kw’obudde.
:2
Mu bubi bw’ebyo bye yatonda.
:3
Ne mu bubi bw’ekiro nga kikutte.
:4
Ne mu bubi bw’abakazi abalogo abasiba ebifundikwa (ne babifuuwamu nga balaamiriza).
:5
Ne mu bubi obuva mu mukozi wensaalwa ng'akoze ensaalwa.