1
Ku lw’erinnya lya Katonda omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo.
2
Amatendo gonna ga Katonda Omulezi w’ebitonde byonna.
3
Omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo.
4
Nannyini buyinza yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero).
5
Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutubeera.
6
Tulungamye mu kkubo eggolokofu.
7
Ekkubo ly’abo bewagabira ebyengera, abatali abo bewasunguwalira era abatali abo abaabula.