Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna
1

E nsi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo.

2

E nsi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebigirimu.

3

Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki?

4

Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolerwanga ku yo.

5

Nti mazima Katonda y'aliba agiragidde okwogera ebyo.

6

Abantu ku lunaku olwo baliva mu kabbuli zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa e mirimu gyabwe.

7

Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba.

8

N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba.