1
Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi).
2
Ne tukuwewulira obuzito obwakuliko.
3
Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo.
4
Era ne tukuwa okwogerwako.
5
(Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu
6
Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu.
7
Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo).
8
Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna.