1
Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi.
2
Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte.
3
Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga.
4
Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa.
5
Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime.
6
Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira?
7
Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya?
8
Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza?
9
Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga.
10
N’omuntu asaba tomuboggoleranga.
11
Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako.