Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

92 - The Night - Al-Layl

:1

Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi).

:2

Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde.

:3

Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi.

:4

Mazima ddala okulafuubana kwa mmwe si kwe kumu.

:5

N'olwekyo, omuntu awaayo ekintu kyonna ng’atya Katonda.

:6

Nakkiriza e birungi. (ebiva mu kukkiriza Katonda).

:7

Tujja kumwanguyiza e kkubo erimutuusa eri obwangu.

:8

Ate oyo akodowala ne yeegaggasa (ng’alowooza nti ebiri ewa Katonda tabyetaaga).

:9

N’alimbisa obubaka obwakkira ku Nabbi Muhammad.

:10

Tujja kumwanguyiza okutuuka eri obuzibu.

:11

N’obugaggabwe tebugenda kumugasa ng’ayingidde okuzikirira (olw’ebikolwa bye ebibi)

:12

Mazima kuli ku ffe okulungamya.

:13

Era mazima ebikwata ku nkomerero ne nsi biri mu buyinza bwaffe.

:14

Mbeekesa omuliro ogubumbujja.

:15

Taliguyingira okugyako oyo omwonoonefu ennyo.

:16

Oyo alimbisa (e bigambo bya Katonda) n'ayawukana (ku kugondera n'okukkiriza Katonda).

:17

So nga oyo asinga okutya Katonda, ajja kugwesambisibwa.

:18

Oyo awaayo ku by'alina ng’anoonya okwetukuza eri Katonda (so si bandabe oba okwatiikirira)

:19

Nga tewali n'omu alina kiyinza ku musasulwa.

:20

Wabula okunoonya okusiimwa ewa mukamaawe owa waggulu ennyo.

:21

Mazima ddala ajja kusiima (ky’anaasasulwa).