95 - The Fig - At-Tīn
:1
Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun.
:2
Era ndayira olusozi lw’e Sinai.
:3
Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe
:4
Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi.
:5
Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo.
:6
Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo.
:7
Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero.
:8
Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima!?.