Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

79 - Those who drag forth - An-Nāzi`āt

:1

Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo gy’abajeemu mu bukambwe.

:2

Era ndayira Malayika ezisowola emyoyo gy’abakkiriza obusowozi.

:3

Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga.

:4

Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya nga zitwala emyoyo gy’abakkiriza mu jjana.

:5

Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro (Byange).

:6

(Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira) ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankana nga engombe efuuyiddwa.

:7

Luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira).

:8

E mitima gy’abatakkiriza ku lunaku olwo giribeera mu kutya.

:9

Amaaso gaabwe nga makkakkamu.

:10

Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tulizzibwawo mu bulamu nga bwetulimu kati?"

:11

Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu?

:12

Bongerako ne bagamba nti (okwonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa.

:13

Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka.

:14

Baligenda okulaba nga bali ku ngulu ku nsi.

:15

Abaffe wamanya ku kyafaayo kya Nabbi Musa?

:16

Awo Katonda we yakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa'?

:17

N'amugamba nti genda eri Firaawo kubanga ye asusse mu bujeemu ne mu buwakanyi.

:18

Omugambe nti, Abaffe waalyetaaze okwetukuza (n'okkiriza mukama Katonda wo)?

:19

Ndyoke mbe nga nkulungamya eri Katonda wo obeere nga omutya?

:20

(Nabbi Musa) n’alaga Firaawo obujulizi obwenkukunala.

:21

(Firaawo) naalimbisa era n’ajeema.

:22

Bwe yamala n'abikuba amabega era n’akola kaweefube w'okubirwanyisa.

:23

N’akungaanya (amagye ge, abakungu be, n’abalogo) n’alangirira.

:24

Ng’agamba nti nze Katonda wa mmwe owa waggulu.

:25

Katonda n’amubonereza n’okumuzikiriza olw’ekisobyo ekyasembayo n’ekyasooka.

:26

Mazima mu ekyo (eky’okuzikiriza Firaawo) mulimu eky’okulabirako eri oyo atya Katonda.

:27

Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno!

:28

(Awamu n'obugevvu bwalyo) yaliwanika n'alitereeza.

:29

Aleeta enzikiza yaalyo n’aggyayo ekitangaala kyalyo.

:30

N’ensi oluvanyuma lwebyo yagyaliira.

:31

Muyo mwennyini mweyajja amazzi gaayo namalundiro gaayo.

:32

N’ensozi yazisimba n'azinyweeza.

:33

(Ebyo yabikola) lwa kugasa mmwe n'ensolo za mmwe.

:34

Akabenje akanene bwe kalijja (olwo lwe luliba olunaku lw'enkomerero)

:35

Olunaku lw’alijjukira omuntu ebyo byonna bye yakola.

:36

Omuliro Jahiimu negulagibwa eri yenna alaba.

:37

Oyo yenna eyasukka mu kujeema

:38

N’asukkulumya obulamu bw’ensi (ku bw'enkomerero)

:39

Mazima omuliro Jahiimu bwe buddo bwe.

:40

Oyo aliba nga yatya okuyimirira mu maaso ga Mukama we (Katonda). N’aziyiza omwoyo gwe ku by’obwagazi.

:41

Mazima e jjana, bwe buddo bwe.

:42

Bakubuuza gwe (Nabbi Muhammad) ebikwata ku lunaku lw’enkomerero, nti lulibaawo ddi.

:43

Wa gy'onoggya okulwogerako?

:44

Omulezi wo Katonda yekka ya manyi ebirukwatako.

:45

Mazima ggwe oli mutiisa eri oyo alutya.

:46

Mazima bwe baliraba olunaku olwo balibanga abataatuula ku nsi okugyako ekiseera ky'olweggulo oba e kye nkya.