Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

78 - The Tidings - An-Naba

:1

Beebuuzaganya ku ki?

:2

Ku kigambo e kinene.

:3

Ekigambo kye baawukaniramu ddala.

:4

Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya.

:5

Oluvanyuma nedda bajja kumanyira ddala.

:6

Abaffe tetwabafuula e nsi e kyaliiro.

:7

N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga).

:8

Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja).

:9

Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo.

:10

Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo)

:11

Ne tufuula emisana omunoonyezebwa eky’okubabeezaawo.

:12

Ne tuzimba waggulu wa mmwe emyaliiro emigumu musanvu.

:13

Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka.

:14

Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka.

:15

Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera (ebirala).

:16

N’amalimiro amasaakaativu.

:17

Mazima olunaku lw’okulamula lwaweebwa e kiseera e kigere.

:18

Olwo Lwe lunaku e ngombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja.

:19

N’eggulu ne liggulwawo ne libeerako e miryango.

:20

N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo.

:21

Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze.

:22

Nga bwe buddo bw’abo abamawaggali eri Katonda.

:23

Baakugubeeramu byeya na byeya.

:24

Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza.

:25

Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi.

:26

Nga y’empeera ebasaanira.

:27

Kubanga baali tebasuubira nti walibayo okubalibwa.

:28

Ne balimbisa nnyo ebigambo byaffe.

:29

So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu, mu buwandiike.

:30

Kale mukombe ku kibabu ky'ebikolwa byammwe kubanga tetujja kubongera okugyako ebibonerezo.

:31

Mazima abatya Katonda bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala).

:32

Amalimiro n’emizabbibu.

:33

N’abawala ab’amabeere amatutu.

:34

N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa.

:35

Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba.

:36

Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza.

:37

Oyo nanyini Ggulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye.

:38

Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu.

:39

Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we.

:40

Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba ebyo emikono gye bye gyakola. Ku lunaku olwo omukaafiiri aligamba: ye nga zinsanze, singa nfuuse ettaka.