Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

77 - The Emissaries - Al-Mursalāt

:1

Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana.

:2

Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi.

:3

Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba).

:4

Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba.

:5

Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza.

:6

Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa.

:7

Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo.

:8

Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo).

:9

Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango).

:10

Era ensozi bwezirimerengulwa.

:11

Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu.

:12

(Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi!.

:13

Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde.

:14

Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!.

:15

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa.

:16

Abaffe tetwazikiriza ababasokawo.

:17

Netubagoberezaako abalala.

:18

Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi.

:19

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:20

Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa.

:21

Netugateeka mukifo ekigakuuma.

:22

Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa.

:23

Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi.

:24

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:25

Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya.

:26

Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo).

:27

Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi.

:28

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:29

Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa.

:30

Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu.

:31

Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro.

:32

Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu.

:33

Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu.

:34

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:35

Olwo lunaku lwebatagenda kwogera.

:36

Wadde okukkirizibwa okwetonda.

:37

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:38

Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera.

:39

Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko.

:40

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:41

Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta.

:42

N'ebibala byebaliba bagala.

:43

Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala.

:44

Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi.

:45

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:46

(Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero).

:47

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:48

Bwebalagirwa okusaala tebasaala.

:49

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa.

:50

Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza.