Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

76 - The Man - Al-'Insān

:1

Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa).

:2

Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba.

:3

Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya.

:4

Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka.

:5

Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura.

:6

Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali.

:7

(Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu.

:8

Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga.

:9

Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza.

:10

(Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye.

:11

N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu.

:12

Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala).

:13

Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti.

:14

Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga.

:15

Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana.

:16

Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa.

:17

Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi.

:18

Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila".

:19

Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa.

:20

Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo.

:21

Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu.

:22

(Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa.

:23

Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa.

:24

Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna.

:25

Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo.

:26

Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu.

:27

Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito.

:28

Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala.

:29

Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe.

:30

Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako.

:31

Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma.