Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

80 - He Frowned - `Abasa

:1

(Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega.

:2

Muzibe bw’amujjidde.

:3

Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza.

:4

Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa.

:5

Oyo eyeegaggawaza nga yeematira.

:6

Ate ggwe gwe weemalira?

:7

Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako?

:8

So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa.

:9

Era ng’atya Katonda.

:10

Ate ggwe gw’otofaako.

:11

Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira.

:12

Aba ayagadde yeebuulirira nayo.

:13

Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo.

:14

Ebigulumizibwa, ebitukuvu.

:15

Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi.

:16

Ab'ebitiibwa, abatukuvu.

:17

Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda?

:18

(Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda?

:19

Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako).

:20

Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa;

:21

Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli.

:22

Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde.

:23

Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola.

:24

Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu).

:25

Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde.)

:26

Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera).

:27

Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke.

:28

E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri.

:29

N’emizayituni n’emitende.

:30

N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)

:31

N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo.

:32

Bibagase n’ebisolo bya mmwe.

:33

Naye okuboggola bwe kuliba kuzze.

:34

Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe,

:35

Ne maamawe, ne kitaawe.

:36

Ne mukyalawe, n’abaanabe.

:37

Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka.

:38

Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana.

:39

Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu.

:40

Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye.

:41

Nga ekizikiza kibibisse.

:42

Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi.