1
Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira.
2
Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa).
3
Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja.
4
Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo).
5
Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange.