1
Bagambe nti, abange mmwe abatakkiriza (abawakanyi).
2
Ssisinza ebyo bye musinza (amasanamu, lubaale, n'ebirala).
3
Wadde namwe temusinza oyo gwe nsinza (ali omu mu bwa Katonda bwe).
4
Era siri waakusinza ebyo bye musinza.
5
Era nammwe temuli baakusinza oyo gwensinza.
6
Mulina e nkola yammwe (ey'okusinza ba Katonda abangi, nange nnina enkola yange (ey'okusinza Katonda omu yekka).