Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna
1

Mazima ffe twakuwa e birungi e bingi, (mu ebyo mwe muli n'oluzzi Kauthara olw'omu jjana).

2

N'olwekyo wenywereze ku kusaala ku lwa Katondawo, era osale n’ebisolo, nga osaddaaka ku lwa Katondawo.

3

Mazima oyo akuwalagganya, (ng'akuvuma era n'okukujeeja) ye wenkuggu.