Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna
1

Olabye oyo alimbisa olunaku lw'enkomerero.

2

Oyo nno y’oyo awalagganya ba mulekwa.

3

Era nga takubiriza kuliisa banaku.

4

Okubonaabona kuli ku abo abasaala,

5

Nga balagajjalira e sswala zaabwe.

6

Abo abakola bandabe.

7

Era abamma bannaabwe ebintu ebitasaana kumma.