Ku lw'empangaala ya ba Kuraish.
Empangaala yaabwe eyalimu okutambula engendo mu butiti ne mu kyeya.
Bateekwa basinze Katonda nannyini nyumba eno (Kaaba).
Katonda eyabawa eby'okulya, n’abawonya enjala, n’abawa e mirembe, ne bataba mu kutya.