1
Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo.
2
Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma.
3
Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi obugenderevu.
4
Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”.
5
Ye omanyi “Hutwama” kye ki?
6
(Hutwama) muliro gwa Katonda omukume, ogubumbujja.
7
Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima.
8
Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira.
9
Mu midumu emiwanvu.