103 - The Declining Day - Al-`Aşr
:1
Ndayira omulembe (buli mulembe)
:2
Mazima ddala omuntu yenna gy’afa yenkana ali mu kufaafaaganirwa.
:3
Okugyako abo abakkiriza Katonda (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima (mu bulamu bwabwe bwonna) era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza (mu bulamu bwabwe bwonna).