1
Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda).
2
Okutuusa lwe muyingira kabbuli.
3
Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa)
4
Ate era oluvanyuma, kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli)
5
Nedda, singa nga mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi)
6
Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim”.
7
Ate oluvanyuma omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala.
8
Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa e byengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki).