1
Ekikoona (ekyentiisa).
2
Ekikoona kye ki?
3
Naye omanyi ekikoona kye ki?
4
Lwe lunaku abantu lwe balibeera nga e biwojjolo ebisaasaanye.
5
N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka.
6
Naye, omuntu alibeera n'emirimu e mirungi nga gizitowa (okusinga ebibibye).
7
Oyo agenda kubeera mu bulamu obw’okwesiima.
8
Ate oyo aliwewukirwa emirimu gye emirungi (ebibi bye n’ebisinga obuzito).
9
Oyo nno, obuddo n'obutuulo bwe muliro oguyitibwa “Haawiya”.
10
Naye omanyi ‘Haawiya’ kye ki?
11
Gwe muliro ogwengeredde (ogwokya ennyo).