All Islam Directory
1

Ndayira e ggulu ne munyeenye ezirabika e kiro.

2

Naye omanyi e munyeenye ezirabika ekiro kye ki?

3

Z’emunyeenye ezaaka ennyo ekitangaala kyazo ne kiyita mu nzikiza ne kituuka ku nsi.

4

Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika).

5

Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu.

6

Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka.

7

Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi.

8

Mazima ddala oyo (Katonda) asobolera ddala okumuzzaawo.

9

Ku lunaku ebyama byonna lwe biribikkulwa.

10

Omuntu tagenda kuba na maanyi gonna yadde omutaasa.

11

Era ndayira e ggulu ewava e nkuba etonnya nga e ddingana.

12

Ne ndayira n’ettaka eryeyasa olw’okumeza e bimera.

13

Mazima ddala yo (Kur'ani) kigambo ekyawula wakati w’amazima n’obulimba.

14

Kur'ani si ya lusaago.

15

Mazima abatakkiriza basala e nkwe.

16

Nange nenkola enteekateeka (zange).

17

Abatakkiriza balindirize, nange mbawadde akaseera katono.