Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

85 - The Mansions of the Stars - Al-Burūj

:1

Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi).

:2

Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)

:3

Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero).

:4

Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya.

:5

Gebaakumamu omuliro ogubumbujja.

:6

Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo.

:7

Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza.

:8

Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa.

:9

Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu.

:10

Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo.

:11

Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala.

:12

Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo.

:13

Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo.

:14

Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo.

:15

Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa.

:16

Akola buli ky’aba ayagadde.

:17

Wali owulidde ku byafaayo by’amagye.

:18

Aga Firawo n’abantu ba Thamuud?

:19

Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa.

:20

So nga Katonda abeetoolodde.

:21

Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa.

:22

Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri.