Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

70 - The Ascending Stairways - Al-Ma`ārij

:1

"Mu ngeri y'okunyomerera" omu ku bakafiiri" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja.

:2

Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako.

:3

Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu.

:4

Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi).

:5

Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi.

:6

Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala.

:7

Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi.

:8

Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse.

:9

Ate ensozi neziba nga pamba asunsuddwa.

:10

Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we.

:11

Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe.

:12

Mukyalawe ne mugandawe.

:13

N'ekika kye ekimukuuma.

:14

Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda.

:15

Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja.

:16

Ogusiriiriza ddala eddiba.

:17

Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima.

:18

Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka "natagyamu mugabo gugitukuza".

:19

Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube.

:20

Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya.

:21

Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo.

:22

Okugyako abo abayimirizaawo e sswala.

:23

Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera.

:24

Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa.

:25

Guweebwa abasabi n'abafuna mpola.

:26

Era bebo abakakasa o kubeerawo kw'olunaku lw'enkomerero.

:27

Era abo abatya ebibonerezo bya Mukama Katonda waabwe.

:28

Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa.

:29

Era abo abakuuma obwerere bwabwe.

:30

Okugyako ku bakyala babwe oba abazaana abali mu mikono gyabwe, anti bo tebanenyezebwa kwabo.

:31

Omuntu asukka ku abo, abo nno be babuusi bensalo.

:32

Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe.

:33

Era abo abeesimbu mu bujulizi bwabwe.

:34

Era abo abasaala e sswala zaabwe mu bujjuvu.

:35

Abo nno balibeera mu jjana nga baweebwa ebitiibwa.

:36

Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa "so nga ate bakulimbisa".

:37

Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja.

:38

Buli omu kubo asuubira okuyingira e jjana eyebyengera.

:39

Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi.

:40

Ndayira Katonda nannyini buvanjuba nobugwanjuba, mazima ffe tusobolera ddala.

:41

Okubawanyisaamu abalungi ababasinga era tetuli ffe baakulemesebwa.

:42

Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa.

:43

Olunaku lwebalifuluma mu ntaana zaabwe nga baduma nga balinga abagenda eri ebendera ebatereddwawo.

:44

Amaaso gabwe makakkamu, obuswavu nga bubabuutikidde, olwo lwe lunaku lwe balaganyisibwa.