Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

69 - The Reality - Al-Ĥāqqah

:1

Olunaku olwokwolesa amazima (olunaku lw’enkomerero).

:2

Olunaku lwokwolesa amazima kyeki.

:3

Naye omanyi olunaku olwokwolesa amazima kyeki.

:4

Abantu ba Thamud n'aba A'adi baalimbisa olunaku olwentiisa.

:5

Abantu ba Thamud bazikirizibwa nakubwatuka okwamanyi.

:6

Ate ba A'adi nebazikirizibwa nakibuyaga owamanyi ennyo eyalimu obunyogovu.

:7

Gweyabamazaamu ebiro musanvu nenaku munaana awatali kuyimiriramu, walaba abantu nga bagudde eri nga balinga enduli zemitende ezikutuddwako amasanso.

:8

Gwe mu kulaba waliwo eyawona.

:9

Farawo, n'abamukulembera, naabo abali kubyalo bya Luutu bayonoona.

:10

Ekyatuusa buli bamu okujeemera omubaka Katonda gwe yabatumira. Katonda kye yava abakwata olukwata oluyitirivu.

:11

Aba Nuhu amazzi bwegaabooga okubawonya twabasaabaliza mulyato.

:12

Olwo nno tulyoke tukibafuulire mmwe ekyokwebuulirira era gakitegeere amatu agategeera.

:13

Naye engombe bwerifuyibwa olufuuwa olusooka.

:14

Ensi nensozi birisitulwa nebimementulwa omulundi gumu.

:15

Olwo nno olunaku lw’enkomerero luliba lutuuse.

:16

Eggulu ligenda kweyasaamu, nga ku lunaku olwo ligenda kuba lyabirivu.

:17

Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo.

:18

Ku lunaku olwo mugenda kuleetebwa mubalibwe tewali kintu kyonna kyemukola kigenda kwekweka.

:19

Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwaddyo agenda kugamba nti abange mujje musome ekitabo kyange.

:20

Mazima nali nkakasa nti ngenda kubalibwa.

:21

Oyo nno agenda kubeera mu bulamu obwesiimisa.

:22

Mu jjana ey'a waggulu.

:23

Ebibala byayo nga birengejjera kumpi.

:24

Kale mulye era munywe muyogeyoge olwebyo byemwakulembeza mu nnaku ezaayita.

:25

Naye oyo alikwasibwa ekitabo kye mu mukono gwe ogwa kkono aligamba nti zinsanze singa siwereddwa kitabo kyange.

:26

Era nessimanya kubalibwa kwange.

:27

Waakiri singa bwennafa kyekyamala nessizuukira.

:28

Ebyobugagga byange tebingasizza.

:29

Sikyalina byakuwoza.

:30

Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje.

:31

Bwemumala mumukasuke mu muliro.

:32

Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu.

:33

Anti yali takkiriza Katonda owekitiibwa.

:34

Era nga takubiriza kuliisa banaku.

:35

N'olwekyo olwaleero wano talinawo muntu amulumirwa.

:36

Nga bwatalina kyakulya okugyako masirasira.

:37

Ebintu ebitayinza kulibwa okugyako abonoonyi.

:38

Tewali kingana kulayira ebyo byemulaba.

:39

Nebyo byemutalaba

:40

Mazima Kur'ani bigambo bya Katonda byeyassa ku mubaka (Nabbi Muhammad) ow'ekitiibwa.

:41

Ssi bigambo bya mutontomi naye Iman yammwe yentono.

:42

Era sibigambo bya mulaguzi naye mufumitiriza kitono (nemutasobola ku byawula).

:43

Byassibwa ku ye okuva eri omulezi w'ebitonde.

:44

Singa yetantala natwogeza ebigambo byetutaamutuma.

:45

Twalimukutteko n'amanyi.

:46

Olwo nno netumukutula omusuwa gw'obulamu.

:47

Era tewali mumwe ayinza kutulemesa kutuukiriza ekyo kuye.

:48

Mazima yyo Kur'ani kyakwebuulirira eri abatya Katonda.

:49

Era mazima ddala tumanyi nti mu mmwe mulimu abalimbisa (Kur'ani).

:50

Mazima okugirimbisa (Kur'ani) kugenda kubeera kwejjusa kunene eri abakafiiri.

:51

Mazima yo Kur'ani ge mazima aga namaddala.

:52

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katonda wo owekitiibwa.