Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

51 - The Winnowing Winds - Adh-Dhāriyāt

:1

Ndayidde empewo ezifumuula enfuufu olufumuula.

:2

Olwo nno nendayira ebire ebyetikka enkuba olwetikka.

:3

N'amaato agaseeyeeya mu mazzi mu bwangu.

:4

Era ndayidde Malayika ezigabanya Riziki okusinziira ku kiragiro ekiba kiziweereddwa.

:5

Mazima bye mulaganyisibwa bya kutuukirira.

:6

Era ddala olunaku lwo kusasula lwa kubaawo.

:7

Ndayidde eggulu eryakolebwa mu ngeri ennungi.

:8

Mazima mmwe muli mu kigambo ekyawukamu (temussa kimu ku bikwata ku Kur’ani).

:9

Awugulwa ku kyo oyo eyabuzibwa (natakkiriza).

:10

Baakolimirwa abo abalimba (aboogera ebitali bituufu ku Nabbi).

:11

Abo abali mu nnyanga ey’obukaafiiri nga babulubuuta.

:12

Nga babuuza nti olunaku lwo kusasula luliba lwaddi?.

:13

Lwe lunaku bo lwe balyokebwa omuliro.

:14

(Nga bwe bagambibwa nti) mukombe ebibonerezo bya mmwe, kino kyekyo kye mwagambanga nti kibatuusibweko mu bwangu.

:15

Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi.

:16

Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa.

:17

Bebakanga e kiseera kitono mu kiro.

:18

Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira.

:19

Era nga mu maali yaabwe mulimu omugabo gwo musabi nooyo atafuna kimumala (naye nga tasaba).

:20

Era mu nsi mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe), eri abo abakkiriza obukkiriza obwa nnamaddala.

:21

Ne mu mmwe mwennyini (mulimu obubonero) abaffe temulaba.

:22

Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa.

:23

Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula.

:24

Abaffe ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim abekitiibwa bya kutuukako.

:25

Bwe baayingira weyali ne bagamba nti mirembe, (naye) naagamba nti mirembe (wabula muli) bantu abatamanyiddwa.

:26

Olwo nno nadda eri abantu be naleeta ennyana y'ente ensava (enjokye).

:27

Nagibasembereza naagamba nti abaffe nga temuulye!.

:28

(Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo.

:29

(Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya!).

:30

(Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo.

:31

Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese?.

:32

Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi.

:33

Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye.

:34

Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde.

:35

(Katonda agamba) awo nno twagyamu oyo yenna eyakirimu (ekitundu ekyo) mu bakkiriza.

:36

Naye tetwasangamu okugyako e nyumba emu eyabasiraamu.

:37

Era twaleka mu kyo ekyo kuyiga eri abo abatya ebibonerezo ebiruma ennyo.

:38

Era ne Musa (alimu ekyo kuyiga) bwe twamutuma ewa Firawo n’obujulizi obweyolefu.

:39

Yagaana (okugoberera Musa) olwokwesigula abali emabega we era nagamba nti (Musa) mulogo oba mulalu.

:40

Olwo nno netumukwatako ne ggye rye netubakasuka mu nnyanja nga naye anenyezebwa.

:41

Ne mu Bantu ba Aadi (mulimu ekyokuyiga) bwe twabasindikira empewo engumba (etaliimu mukisa tereeta nkuba wadde okuwasisa ebibala).

:42

Nga tereka kintu kyonna kyeyitako okugyako nga ekifuula nga ensaano.

:43

Ne mu bantu ba Thamud (mulimu ekyokuyiga) bwe bagambibwa nti mweyagale okumala akaseera katono.

:44

Wabula bo basukka ekiragiro kya Mukama omulabiririzi waabwe, olwo nno okubwatuka okwamaanyi ne kubatuukako nga nabo balaba.

:45

Tebaasobola kusituka (badduke) era tebaali ba kuwona.

:46

N'abantu ba Nuhu nga bano tebannabaawo (nabo balimu ekyokuyiga anti nabo baazikirizibwa era nabo kya bagwanira) anti mazima bo baali bantu abonoonyi.

:47

(N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya.

:48

N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga.

:49

Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira.

:50

Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.

:51

N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.

:52

Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu.

:53

Abaffe bakyeramira (nedda ssi bwekiri) wabula bo bantu be wagguzi.

:54

Kale baveeko toli ggwe anenyezebwa.

:55

Wabula bulirira anti mazima okubulirira kugasa abakkiriza.

:56

Era ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze.

:57

Sibaagalamu Riziki era ssaagala bandiise.

:58

Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi.

:59

Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu).

:60

Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero).