Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

50 - The Letter "Qaf" - Qāf

:1

Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo).

:2

Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo.

:3

(Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo.

:4

(Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu).

:5

Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala).

:6

Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli.

:7

Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu.

:8

Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda.

:9

Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa.

:10

N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo.

:11

Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba.

:12

Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud.

:13

Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu.

:14

N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa.

:15

Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya.

:16

Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu.

:17

Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe.

:18

Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera.

:19

Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala.

:20

Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa.

:21

Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi.

:22

(Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo.

:23

Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo.

:24

(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka.

:25

Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa.

:26

Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe.

:27

(Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala.

:28

(Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi).

:29

Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu.

:30

(Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza?.

:31

E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala.

:32

Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage).

:33

(Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda.

:34

(Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera.

:35

Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza.

:36

Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero.

:37

Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza).

:38

Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna.

:39

Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa.

:40

Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa).

:41

Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi.

:42

Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okwa mazima, olwo nno lwe luliba olunaku lwokufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana).

:43

Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo.

:44

Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe.

:45

Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange.