Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna
1

Ndayira ekibuga kino (Makkah).

2

Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino.

3

Era ndayira omuzadde ne baazaala.

4

Mazima twakola omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana.

5

Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola.

6

Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyingi nnyo.

7

Alowooza nti tewali n’omu amulaba.

8

Tetwamuwa amaaso abiri.

9

N’olulimi n’emimwa ebiri.

10

Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ekirungi n'ery'ekibi).

11

Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu e nkomerero).

12

Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako)?

13

Kuta muddu.

14

Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala;

15

Mulekwa, owooluganda olw’okumpi;

16

Oba omwavu lunkupe.

17

Ate era n’abeera mu abo abakkiriza. Ng’era balaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana okusaasiragana.

18

Abo nno beebo abokubeera ku mukono ogwa ddyo.

19

Naye abo abawakanya e bigambo byaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono.

20

( Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire.