Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

82 - The Cleaving - Al-'Infiţār

:1

E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu.

:2

N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana.

:3

N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde.

:4

Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo).

:5

Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo.

:6

Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi.

:7

Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya.

:8

Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera.

:9

Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero).

:10

Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika).

:11

Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa)

:12

Bamanyi ebyo byonna byemukola.

:13

Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera.

:14

Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu.

:15

Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero).

:16

Tebagenda ku gwebulankanyako.

:17

On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero).

:18

Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo).

:19

Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka.