Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

67 - The Sovereignty - Al-Mulk

:1

Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu.

:2

Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi.

:3

Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna.

:4

Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo.

:5

Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.

:6

Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi.

:7

Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa.

:8

Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)?

:9

Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu.

:10

Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro.

:11

Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro.

:12

Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

:13

Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba

:14

Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo!.

:15

Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda.

:16

Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse.

:17

Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu.

:18

Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako.

:19

Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu.

:20

Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali.

:21

Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula.

:22

Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu.

:23

Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono.

:24

Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali.

:25

Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu.

:26

Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu.

:27

Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi.

:28

Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma.

:29

Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu.

:30

Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo.