Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

56 - The Inevitable - Al-Wāqi`ah

:1

Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka.

:2

Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa.

:3

Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi).

:4

Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana.

:5

N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa.

:6

Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka.

:7

Era mmwe nemuba emitendera esatu.

:8

Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?.

:9

Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?.

:10

Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu.

:11

Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda).

:12

Nga bali mu jjana ez'ebyengera.

:13

Bangi mu bibiina ebyasooka.

:14

Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad).

:15

(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo.

:16

Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya).

:17

Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu.

:18

Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo.

:19

Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira.

:20

N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo.

:21

Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala.

:22

N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana.

:23

Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri.

:24

(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi).

:25

Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza.

:26

Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe.

:27

Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?.

:28

Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa.

:29

N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye.

:30

N'ebisikirize ebigazi.

:31

N'amazzi agakulukuta awatali kusalako.

:32

N'ebibala ebingi.

:33

Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo.

:34

N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu.

:35

Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda.

:36

Olwo nno twabatonda nga mbeerera.

:37

Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa.

:38

Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo.

:39

Bangi mu bibiina ebyasooka.

:40

Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad).

:41

Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?.

:42

Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze.

:43

Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya.

:44

Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa.

:45

Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya.

:46

Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira).

:47

Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!.

:48

Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!.

:49

Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma.

:50

Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa.

:51

Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa.

:52

Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu.

:53

Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe).

:54

Olwo nno munywereko amazzi ageeseze.

:55

Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta.

:56

Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula.

:57

Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo).

:58

Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana.

:59

Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!.

:60

Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa.

:61

Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi.

:62

Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira.

:63

Abaffe mulaba ebyo bye mulima.

:64

Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!.

:65

Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya.

:66

(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa.

:67

(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa.

:68

Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa.

:69

Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa.

:70

Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi).

:71

Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma.

:72

Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika.

:73

Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro).

:74

Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.

:75

Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye.

:76

Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi.

:77

Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa.

:78

Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)

:79

Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza).

:80

Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.

:81

Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira.

:82

Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe.

:83

Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa).

:84

Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula.

:85

Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba.

:86

Kale singa mwali temufugibwa (Katonda).

:87

Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima.

:88

Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda).

:89

Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera.

:90

Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.

:91

(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.

:92

Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze.

:93

(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi.

:94

Nakwesogga muliro Jahiimu.

:95

Mazima ebyo ge mazima agannamaddala.

:96

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.