Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

54 - The Moon - Al-Qamar

:1

Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu.

:2

Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.

:3

Olwo nno ne balimbisa era ne bagoberera okwagala kwabwe, so nga buli kigambo kirina engeri gye kirina okubaamu (nungi oba mbi).

:4

Ate nga ddala gaabatuukako amawulire ago agaalimu okukanga (okwandibamaze ne batya Katonda).

:5

(Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda).

:6

Kale baveeko (olindirire) olunaku omukowooze lwalikowoola (abantu) kugenda eri ekintu ekitayagalwa.

:7

Amaaso gaabwe nga gatunudde wansi, baliva mu kabburi nga balinga ensenene ezisasaanye.

:8

Balisaayirira okugenda eri omukowooze nga abakafiiri bwe bagamba nti, luno lunaku luzito.

:9

Oluberyeberye lwabwe, abantu ba Nuhu balimbisa, olwo nno nebalimbisa omuddu waffe ne bagamba mbu muguwaddalu ate naatiisibwatiisibwa.

:10

Kyeyava asaba Mukama omulabirizi we nti mazima nze nemerdeddwa n’olwekyo nziruukirira.

:11

Olwo nno netuggulawo emiryango gya waggulu ne tumuwa amazzi agafukumuka.

:12

Era ettaka netulifukumulamu ensulo amazzi (ag’emirundi ebiri) ne gasisinkana okusinziira ku kiragiro ekyagerwa edda.

:13

Netumusitulira na bonna abali naye mu lyato eryakolwa mu mbawo ne misumaali.

:14

Nga liddukira (ku mazzi ago) ku lwa buyinza bwaffe, ekyo nga kusasula eri oyo eyali awakanyizibwa.

:15

Mazima (ekyafaayo ekyo) twakireka nga kya kuyiga, abaffe waliwo eyeebuliridde?.

:16

(Nebalaba nti) ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya!.

:17

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.

:18

Abeekika kya Aadi baalimbisa naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

:19

Mazima ffe twabasindikira kikungunta omukambwe, mu lunaku olwe kikwa ekitaasalako olunaku lwonna.

:20

Eyasikulanga abantu (okuva ku ttaka) nga bagwa nga ebikonge by'emitende ebisiguddwa.

:21

Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

:22

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuulirira, abaffe waliyo eyebuuliridde.

:23

Abeekika kya Thamud baalimbisa okutiisa kwa (Nabbi waabwe Swaleh).

:24

Olwo nno ne bagamba nti abaffe omuntu obuntu omu mu ffe, gwetuba tugoberera (netumala tukikola) olwo nno mazima ffe tujja kuba mu bubuze na bugwi bwa ddalu.

:25

Mu ffe fenna ye yaweereddwa obubaka! Nedda ssi bwekiri yye mulimba alina kyalubirira.

:26

Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi.

:27

(Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi).

:28

Era bategeeze nti (okuva engamiya lwezze) ddala amazzi ga kugabanyizibwa wakati waabwe nayo, nga buli luwalo lutuukirizibwa, (nyinirwo yaalina okufuna amazzi keebe ngamiya oba bantu).

:29

Olwo nno baakowoola mu nnaabwe neyeesowolayo naafumita (engamiya).

:30

Naye ebibonerezo byange n’okutiisa byali bitya.

:31

(Anti) mazima twabasindikira olubwatuka lumu, olwo nno ne baba nga ebisubi ebigwa okuva ku lugo (lwo muntu agenderera okukuuma ebisolo bye).

:32

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu, ebeere nga ebuulirira abaffe waliyo eyebuuliridde.

:33

Abantu ba Luutu baalimbisa obubaka.

:34

Mazima ffe twabasindikira kibuyaga owa mayinja (eyabasanyaawo bonna) okugyako abantu b’o mu maka ga Luutu, twabawonya mu ttumbi.

:35

Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza.

:36

Mazima (Luutu) yabeekesa okukwata kwaffe wabula nebabuusabuusa okulabula (kwe).

:37

Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange.

:38

Era mazima ebibonerezo ebitasalako bya bazinda mu matulutulu.

:39

Olwo nno nebakomba ku bibonerezo byange n’okulabula kwange.

:40

Mazima Kur’ani twagifuula nyangu ebeere nga ebuuririra abaffe waliyo eyebuuliridde.

:41

Mazima okulabula kwajjira abantu ba Firawo.

:42

Baalimbisa ebigambo byaffe byonna, olwo nno netubakwata enkwata ya Nantakubwa ku mukono, nannyini buyinza.

:43

Abakafiiri ba mmwe be balungi okusinga abo! oba (ekibayinula) mulina akalagaane ku butavunaanwa nga kawandiikibwa mu bitabo ebitukuvu ebyasooka.

:44

Oba (ekibayinula lwakuba) bagamba nti ffe tuli bangi nga twegasse tusobola okwetaasa.

:45

(Zibasanze) ekibiina (ekyo) kijja kuwangulwa era bakubeyo amabega (badduke).

:46

(Byonna bye baliko temuli) wabula olunaku lw’enkomerero ye ndagaano yaabwe era olunaku lw’enkomerero lwelusinga obukalubo n’obukaawu.

:47

Mazima abonoonyi bali mu bubuze na bugwi bwa ddalu.

:48

(Bandibadde bajjukira) olunaku lwe baliwalulwa ku byenyi byabwe mu muliro (nga bwe bagambibwa nti) mukombe ku bulumi bw’omuliro Sakara.

:49

Mazima ffe buli kintu twakitonda mu ngeri nga bwe kisaana okuba.

:50

(Ate mu kukola ebintu byonna) ekiragiro kyaffe tekiri okugyako kimu nga kiringa lutemya lwa liiso.

:51

Era ddala twazikiriza abafaanana nga mmwe, abaffe waliyo eyebuuliridde.

:52

Na buli kintu kyonna kye baakola kiri mu kitabo.

:53

Era buli kitono n'ekinene kyawandiikibwa.

:54

Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n’emigga (egiriba gikulukutira wansi waazo).

:55

Mu kifo ekya mazima ew’omufuzi nannyini buyinza.