Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

44 - The Smoke - Ad-Dukhān

:1

Ha Miim.

:2

Ndayidde ekitabo (Kur’ani) ekinnyonnyofu.

:3

Mazima ffe twakissa mu kiro ekyomukisa (anti) mazima ffe twali tulina okutiisa (abantu).

:4

Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo.

:5

Nga kwo kusalawo okuva gye tuli (anti) mazima ffe twali tuteekwa okutuma ababaka.

:6

(Ekyokutuma ababaka) kusaasira okuva ewa Mukama omulabirizi wo (anti) mazima yye yawulira ennyo amanyi ennyo.

:7

(Yye Katonda) ye Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi, bwe muba muli bakkiriza abannamaddala.

:8

Tewali kirina kusinzibwa okugyako yye, awa obulamu era yabujjawo. Mukama omulabirizi wa mmwe era omulabirizi wa bakadde ba mmwe abasooka.

:9

Wabula bo (abatakkiriza) bali mu kubuusabuusa, bazannya.

:10

Kale lindirira olunaku eggulu lweririreeta omukka omweyolefu (ogulabwa buli omu).

:11

Gugenda kubikka abantu ekyo kiriba kibonerezo ekiruma ennyo.

:12

(Baligamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tugyeko ekibonerezo, mazima ffe tukkirizza.

:13

Naye wwa gye baliggya okujjukira (batuuke okwebuulirira) ate nga mazima omubaka annyonnyola obulungi yabajjira.

:14

Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu.

:15

Mazima ffe tujja kuggyawo ekibonerezo katono (wabula) mazima mmwe mujja kuddayo (mu butakkiriza bwa mmwe).

:16

(Wabula bajjukize) olunaku lwe tulikwata olukwata olwamaanyi (anti) mazima ffe tuli ba kubonereza.

:17

Era mazima twageseza oluberyeberye lwabwe abantu ba Firawo, era nga yabajjira omubaka owekitiibwa.

:18

(Naagamba nti) munzirize abaddu ba Katonda (anti) mazima nze ndi mubaka omwesigwa.

:19

Era (ekyokubiri) mu be nga temwekuluntaza ku Katonda, mazima nze mbaleetedde obujulizi obwolwatu.

:20

Era mazima nze nsaba obukuumi ewa Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe muleme kunkuba mayinja.

:21

Bwe munaaba temukkiriza byengamba kale mundeke (temuntusaako kabi)

:22

(Wabula bamukijjanya) olwo nno nakowoola Mukama omulabirizi we nti mazima abo bantu bonoonyi.

:23

(Katonda naamulagira nti) tambula ekiro na baddu bange anti mazima mmwe mujja kuwonderwa.

:24

(Bwomala okusomoka ggwe ne booli nabo) ennyanja gireke ng’erimu ekkubo (anti) mazima bbo, ggye lyakuzikirizibwa.

:25

Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka?.

:26

N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa.

:27

Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu.

:28

Bwekityo (bwekyali nebaggwawo) netubisikiza abantu abalala.

:29

Eggulu ne nsi tebyabakaabira era tebaali ba kulindirizibwa (nti baweebwe akaseera beenenye).

:30

Era ddala twawonya abaana ba Israil ebibonyoobonyo ebinyoomesa.

:31

(Bwe twabawonya) Firawo anti mazima yye yali mwekuza era nga wa mu bonoonyi ennyo.

:32

Okusinziira ku kumanya (kwaffe) twabasukkulumya (abaana ba Israil) ku bitonde ebirala.

:33

Era netubawa ebya magero ebyo ebyalimu okugesezebwa okwolwatu.

:34

Mazima abo (abakafiiri bo mu Makkah) ddala bagamba nti.

:35

Tewali kiriwo okugyako okufa kwaffe okusooka, era tetuli ba kuzuukizibwa.

:36

(Okuzuukira bwekuba nga gye kuli) kale muleete bakadde baffe bwe muba nga mwogera mazima.

:37

Abaffe bo be basinga obulungi oba abantu ba Tubbai (bantu be Saba-a abafuzi be Yamani) n'abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe (bonna) twabazikiriza (anti) mazima bo baali bonoonyi.

:38

Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi nga tuzannya.

:39

Era tetwabitonda byombi wabula ku lwa nsonga, naye ddala abasinga obungi ku bo tebamanyi.

:40

Mazima olunaku lwokusalawo bonna kye kiseera kyabwe ekya balaganyisibwa.

:41

Olunaku owomukwano lwa taligasa wa mukwano kintu kyonna, era bo tebagenda kudduukirirwa.

:42

Okugyako oyo Katonda gwalisaasira anti mazima yye (Katonda) ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo.

:43

Mazima omuti (oguyitibwa) Zakkuumi.

:44

Ye mmere ya bonoonyi.

:45

(Obubi bwagwo ng’omuntu agulidde) guli nga ekyuma ekisaanuuse, gulyeserera mu mbuto (z’abaligulya).

:46

Nga okwesera kwa mazzi agakyamuse.

:47

(Olwo nno Katonda aliragira ba Malayika nti) mumukwate (omwonoonyi) olwo nno mu muwalule mu mukasuke mu makkati g’omuliro Jahiimu.

:48

Oluvanyuma mufukirire waggulu ku mutwegwe ekibonerezo eky’amazzi ageeseze (agogeddwako).

:49

(Bali mugamba) loza (ku kibonerezo anti) mazima ddala gwe gwe wamanyi owekitiibwa (nga bamukudaalira).

:50

Mazima kino kyekyo kye mwali mutankana.

:51

Mazima abatya (Katonda) baliba mu kifo ekyeddembe.

:52

Baliba mu malimiro n’amazzi ag'ensulo.

:53

Baliyambala engoye ezaliiri omuwewufu n’omuzito, nga batudde batunuuliganye.

:54

Bwekityo (bwe kiriba) era tuli bafumbiza ababeezi ab’amaaso amanene.

:55

Balisaba nga bali mu yo buli kibala nga bali mirembe.

:56

Nga bali mu yo tebalikomba ku kufa nga ogyeko okufa okwasooka, era ali bawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu.

:57

(Byonna) nga bigabwa ebiva ewa Mukama omulabirizi wo, okwo kwe kwesiima okusuffu.

:58

Era ddala twagyanguya (Kur’ani) ku lulimi lwo babe nga bebuulira (nayo).

:59

Kale lindirira mazima ddala bo balindiridde.