. Alif Laam Miim.
. Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde.
. Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama.
. Katonda y'oyo eyatonda mu nnaku mukaaga eggulu omusanvu n'ensi, na byonna ebiri wakati wa byombi bwe yamala naatebenkera ku Arishi, okugyako yye temulina mukuumi wadde omuwolereza. abaffe temwebuulirira?.
. (Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala.
. Oyo nno ye mumanyi w'ebikusike n'ebirabwako, nantakubwa ku mukono omusaasizi.
. Oyo eyalungiya buli kintu kye yatonda, nga era yatandika okutonda omuntu nga amuggya mu ttaka.
. Ate ezaddelye (omuntu) n'aba nga alisibimbula mu mazzi aganyoomebwa.
. Bwe yamala yamussa mu kifaananyi e kimusaanira, naamufuwamu ogumu ku myoyogye (gye yatonda edda) naabassaako amatu, n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono.
. Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
. Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.
. Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa.
. Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu.
. (Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola.
. Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza.
. Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira.
. Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola.
. Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana.
. Bo abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi balina e jjana ezeeyagaza okubeeramu, nga bugenyi (obulibaweebwa) olw'ebyo bye baakolanga.
. Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.
. Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu).
. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi.
. Era mazima twawa Musa e kitabo (nga Taurat n'olwekyo naawe) tobeeramu kubuusabuusa mu ku kifuna (nga Kur'ani) era twakifuula bulungamu eri abaana ba Israil.
. Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe.
. Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ajja kusalawo wakati waabwe ku lunaku lw'enkomerero mu ebyo bye baayawukanangamu.
. Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira!.
. Abaffe tebalaba nti mazima ffe tusundika amazzi eri ettaka ekkalu ne tumeza nago ebirimwa, e bisolo bya bwe kwe birya nabo bennyini, abaffe tebalaba!.
. Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?.
. Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa.
. Kale nno baveeko era ggwe olindirire, mazima bbo bali mu kulindirira.