Etterekero ly’ebitabo by’Obusiraamu Byonna

15 - The Rocky Tract - Al-Ĥijr

:1

Alif Laam Raa, zino ze zimu ku Aya z'ekitabo, era nga ye Kur’ani ennyinyonnyofu.

:2

Lumu, abo abaakaafuwala balyegomba okuba nti singa baali basiraamu.

:3

Baleke balye, era beeyagale era essuubi (mu kuwangaala) libalabankanye, kyaddaaki balimanya.

:4

Tetwazikiriza kitundu kyonna okugyako nga kyalina ekiseera ekimanyiddwa.

:5

Tewali bantu bakulembera ntuuko yaabwe era tebayinza kusaba kwongerwayo (okusaba kwa bwe ne kuyitamu).

:6

Nebagamba (abakaafiiri) nti owange ggwe eyassibwako ekijjukiza (Kur’ani) mazima ddala ggwe oli mulalu.

:7

Waakiri singa otuleetera ba Malayika bwoba nga oli mu boogera amazima.

:8

(Katonda naagamba) nti: tetussa ba Malayika okugyako lwa nsonga n'olwekyo (singa twabaweereza ba Malayika) tebandibadde balindirizibwa.

:9

Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma.

:10

Mazima nga tonnajja twatumira ebibiina ebyakulembera.

:11

Era tewali mubaka yenna eyabajjira okugyako baamujeejanga.

:12

(Nga bwe twayingiza obukaafiiri mu mitima gya bakaafiiri abaakulembera) bwe tutyo bwe tubuyingiza mu mitima gy'aboonoonyi (abo mu bantubo).

:13

(Obubaka bwo) tebabukkiriza ate nga ekyatuuka ku baabakulembera kimanyiddwa.

:14

Era singa twabaggulirawo omulyango mu ggulu nebaba nga balinnyira mu gwo (nga bwe bakka).

:15

Baaligambye nti mazima amaaso gaffe gatamiiziddwa si nakindi ffe tuli bantu abaloge.

:16

Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi.

:17

Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.

:18

Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde.

:19

N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero.

:20

Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa.

:21

Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo.

:22

Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese.

:23

Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo.

:24

Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo.

:25

Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya.

:26

Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu.

:27

N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo.

:28

Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze.

:29

Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira.

:30

Olwo ba Malayika bonna nebavunnama.

:31

Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama.

:32

(Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami.

:33

(Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu.

:34

(Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda.

:35

Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa.

:36

(Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa.

:37

(Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa.

:38

Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira).

:39

(Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna.

:40

Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu.

:41

(Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu.

:42

Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze.

:43

Era mazima omuliro Jahannama gwabalagaanyisibwa bonna.

:44

Gulina emiryango musanvu, buli mulyango gulina mu bo omuteeko ogwagugerekerwa.

:45

Mazima abatya Katonda balibeera mu jjana n'ensulo nga zikulukuta.

:46

(Baligambibwa) nti mugiyingire nga muli mirembe nga temulina kutya kwonna.

:47

Netujjawo buli kakuku akali mu bifuba bya bwe nebaba ab'oluganda. Olwo nno nga bali ku bitanda nga batunuuliganye (banyumya).

:48

Tebagenda kutuukibwako kukoowa era nga bwe batagenda kufulumizibwamu.

:49

Tegeeza abaddu bange nti nze musonyiyi ennyo omusaasizi.

:50

Era nti mazima ebibonerezo byange by'ebibonerezo ebiruma ennyo.

:51

Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim.

:52

Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde.

:53

Nebagamba nti totya, mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu (ag'okuzaala) omwana omulenzi omumanyi ennyo.

:54

(Ibrahim) naagamba nti: mumpa amawulire ag'essanyu nga n'obukadde bumaze okunzingiza olwo mawulire ga ssanyu nnabaki?.

:55

Nebagamba nti, tukuwadde amawulire ag'essanyu mu bwesimbu, tobeeranga mu bakutuka n'okusuubira.

:56

Naagamba nti nga ani akutuka n'okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe mpozzi ababuze!.

:57

Naagamba nti kiki ekibaleese abange mmwe abatumiddwa?.

:58

Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi.

:59

Ng'oggyeko abenju ya Luutu mazima ddala ffe bonna tujja kubawonya.

:60

Okugyako mukyalawe, twakisalawo nti mazima yye waakubeera mu abo abataligenda (naye).

:61

Ababaka bwe baatuuka awali abantu ba (Nabbi) Luutu.

:62

(Luutu) naagamba nti mazima mmwe muli abantu abatamanyidddwa.

:63

Nebagamba nti: ssi ekyo kyokka wabula tukujjidde n'ekyo kye baali babuusabuusa.

:64

Era tukuleetedde amazima, era ddala ffe bye twogera bituufu.

:65

Kale tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro era (ggwe) baveeko emabega tewaba omu ku mmwe akyuka, era mugende eyo gye mulagiddwa.

:66

Netumuwa ekiragiro nti abasembayo ku bo baakuggwawo nga busaasaana.

:67

Abantu bo mu kibuga nebajja (ewa Luutu) nga bafa essanyu (olw'abagenyi abavubuka abaali bakyaddeyo).

:68

(Luutu) naagamba nti mazima abo bemulaba bagenyi bange temunsonyiwaza.

:69

Era mutye Katonda temunswaza.

:70

Nebagamba nti: abaffe tetwakugaana (okuleeta wano) abantu!.

:71

Naabagamba nti bawala bange baabo bwe muba nga mulina kukikola.

:72

(Katonda agamba nti) ndayidde obulamu bwo (ggwe Muhammad) mazima bo mu kukola ebyo byonna, baali babuyaanira mu butamiivu bwabwe.

:73

Okubwatuka (okwamaanyi) nekubatuukako nga enjuba evaayo.

:74

(Netuvuunika ebyalo byabwe) netuzza waggulu waabyo wansi, netubafukirira amayinja ag'o mu bbumba eryokye.

:75

Mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abo abalondoozi b'obubonero.

:76

Era mazima ebyalo ebyo (ebyazikirizibwa) biri ku kkubo erikyaliwo (agendayo asobola okubiraba).

:77

Mazima mu ebyo mulimu akabonero (akalaga obusobozi bwa Katonda) eri abakkiriza.

:78

Era mazima n'abantu b'omukibira baali beeyisa bubi.

:79

Netubazikiriza era mazima abantu ab'emirundi ebiri (aba Luutu ne Swaibu) baali ku kkubo erimanyiddwa (buli ayitawo alabawo).

:80

Mazima abantu be Hijiri baalimbisa ababaka (bwe baalimbisa Nabbi Swaleh).

:81

Era netubaleetera obubonero bwaffe naye nebabwawukanako.

:82

Baasimanga ensozi, nebakolamu amayumba mwe baawangaaliranga mu ddembe.

:83

Okubwatuka nekubakwata nga bukya.

:84

Ebyo bye baakolanga tebyabayamba.

:85

Era tetwatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi okugyako ku lwakigendererwa, era nti mazima essaawa esembayo ejja kutuuka, kale nno lekera olulekera olulungi.

:86

Mazima Mukama omulabiriziwo yye ye mutonzi amanyi ennyo.

:87

Era mazima twakuwa ayaa omusanvu eziddinganwa (Surat Al Fatiha) ne Kur’ani ey'ekitiibwa (yonna).

:88

Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.

:89

Era bagambe nti mazima nze ndi mutiisa ow'olwatu.

:90

Nga bwe twassa ku abo abagabanya (mu bubaka bwa Katonda).

:91

Abo abafuula Kur’ani ebiwayi.

:92

Ndayira Mukama omulabiriziwo nti mazima bonna tugenda kubabuuliza ddala.

:93

Ku ebyo bye baakolanga.

:94

Kale yogera mu lwatu ekyo ekikulagirwa, era oyawukane ku bagatta ku Katonda ebintu ebirala.

:95

Mazima ffe twakumalira abajeeja.

:96

Abo abassa ku Katonda ba katonda abalala, nebwebuliba ddi balimanya.

:97

Tumanyidde ddala nti mazima ggwe ekifuba kyo kifunda olw'ebyo bye boogera.

:98

(Ggwe kyoba okola) tendereza ebitendo bya Mukama omulabiriziwo era obeere mu bavunnama.

:99

Era sinza Mukama omulabiriziwo okutuusa obukakafu (okufa) lwe bulikujjira.